Munnamateeka Samuel Muyizi ali mu kwemulugunya olw’ekitongole eky’amakkomera, okubalemesa okulaba abasibe, omubaka we Kawempe North Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana ow’e Makindye West, nga beerimbika mu kutangira Ebola okuyingira amakkomera.
Ssegirinya ne Ssewanyana, bali ku misango egiwerako, omuli egy’obutemu, okutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okwagala okutta abantu n’emirala, nga byonna byekuusa ku kitta abantu ekyali Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana 2021, omwafiira abasukka 20 n’okulumya abantu bangi ddala.
Wabula emisango gyongezeddwaayo okutuusa nga 20, February 2023, nga kivudde ku mulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala ewuliriza emisango gya bakalintalo Alice Komuhangi obutabaawo, era bwatyo omuwandiisi wa kkooti, Pamela Lamunu Ocaya nayongezaayo omusango.
Munnamateeka w’abasibe Muyizi agamba nti okulemesa Ssegirinya ne Ssewanyana okuggya mu kkooti n’okubalemesa okugenda mu kkomera e Kigo, kyongedde okubalemesa okufuna ebiwandiiko, okugenda mu kkooti ejjulirwamu okusabira abantu baabwe okweyimirirwa kuba abasibe balina okuteeka emikono ku biwandiiko.
Muyizi era agamba nti Ssegirinya ne Ssewanyana okuba ku limanda okumala omwaka mulamba, kityoboola eddembe lyabwe nga Gavumenti eremeddeko okubasiba.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rPyQ3m_aCo4