Omukozi w’awaka ayongedde okulaga nti kati ali mu bintu, olwa ssemaka okulaga nti naye mulungi nnyo mu nsonga z’omu kisenge.
Mu nsi y’omukwano, laavu eyinza okuvaako omuntu yenna okukola ebintu ebiyinza okumuwa ekitiibwa mu bantu oba okumuswaza.
Ate olw’abantu okunoonya ssente, bangi ku bakyala basobodde okuleeta abawala okukola emirimu gy’awaka egy’enjawulo n’okusingira ddala okufumba n’okulabirira awaka omuli n’abaana.
Ekiswaza nti bangi ku bawala abakola emirimu gy’awaka, ate bafuuse bakyala mu maka olw’abasajja okubaganza.
Omu ku bakyala nga mutuuze we Najjanankumbi mu Kampala, avudde mu mbeera, oluvanyuma lw’okuzuula nti bba abadde ali mu laavu n’omukozi w’awaka.
Omukyala ategerekeseeko erya Sarah agamba nti omusajja abadde ayongedde okukyuka nga buli kiro, tasukka lawundi 2 mbu akooye nnyo.
Agamba nti akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, yalina ebintu byanoonya mu kkamera z’omu nju, kwe kuzuula nti bba buli kumakya, atwala omukozi w’awaka mu kisenge kyabwe, okudda mu kusinda omukwano.
Ng’omukyala omulala yenna, Sarah yavudde mu mbeera era amangu ddala yagobye omukozi mu maka nga yabadde mukambwe nnyo.
Mu kiseera kino Sarah ne bba bali mu lusirika kuba omusajja yaswadde nnyo ate omukyala agamba nti bba okudda ku mukozi w’awaka, yatyobodde ekitiibwa kye.
Ssenga Kawomera ayogeddeko naffe.
Ssenga Kawomera agamba nti abakyala okuleeta abakozi ne balemwa okukola omulimu gwonna mu maka, kyongedde okutabula embeera.
Agamba nti abakozi abamu, batuuka ne mu kisenge okwala obuliri, ekivaako abasajja okutwala abakozi ng’abakyala.
Mungeri y’emu alabudde abakyala nti wadde bafunye abakozi okubayambako ku mirimu, balina okwenyigiramu okulaga nti ddala ye mukyala mu maka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=cGAa9i6rt30&t=35s