Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi byongedde amaanyi mu kunoonyereza, okuzuula ekituufu, ekyavuddeko abantu okufa ku Freedom City nga tuyingira omwaka omuggya ogwa 2023.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, omutegesi w’ekivvulu Abbey Musinguzi amanyikiddwa nga Abtex, yasimbiddwa, mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Makindye Igga Adiru era yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa sabiiti ejja ku Lwokubiri nga 10, omwezi guno ogwa Janwali.

Abtex yasindikiddwa e Luzira

Abtex yagguddwako emisango 9 egy’obulagajjavu, ekyavuddeko abantu 10 okufa.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba nti Abtex yagguddwako emisango gy’obulagajjavu, nga Poliisi yafunye okuwabulwa kwa Ssaabawaabi wa Gavumenti.

Fred Enanga

Enanga agamba nti okunoonyereza kulaga nti tewali kubusabuusa kwonna, abantu okufa, kyavudde ku bulagajjavu.

Eddoboozi lya Abitex

Wakati mu kwongera okunoonyereza, Poliisi eyongedde okuyita abantu abalala, okugibwako sitetimenti ku kyavaako abantu okufa.

Abamu ku bayitiddwa, mwe muli MC eyasaba abadigize okugenda okulaba ‘Fireworks’, ekyavaako abantu okwenyiga, okwerinnya ssaako n’okufa.

Abalala kuliko abasirikale abaali bakuuma ekifo, Nannyini Freedom City, Bamanejja ba Freedom City, Bakanyama abaakola ku nsonga y’ebyokwerinda ssaako n’abakozo abaali munda.

Kenzo mu kivvulu

Mungeri y’emu n’abazadde abafiirwa abaana baabwe, balina okugibwako sitetimenti, ku ngeri abaana abato gye batuuka mu kivvulu ky’abantu abakulu ssaako n’okutuuka okufa.

Fred Enanga era agamba nti okutangira abantu okuddamu okufa, bagenda kuddamu okwekeneenya obukwakulizo ku buli muntu yenna, alina okutekateeka ekivvulu mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8SRGaMkIBlI&t=81s