Omusajja omuwagizi wa Arsenal awunze ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, bw’akutte mukyala we ng’ali mu kaboozi.
Omusajja ategerekeseeko erya Juma yavudde awaka ku ssaawa nga 3 okugenda mu kibanda mu bitundu bye Matugga mu Wakiso okulaba omupiira.
Arsenal ebadde esamba Man City wabula oluvanyuma lwa Kevin De Bruyne okuteeba ggoolo ya Man City ey’okusatu (3) mu ddakika 86 nga Arsenal erina 0, Juma yavudde mu kibanda okudda awaka.
Wadde Man City ekubye Arsenal ggoolo 4-1, Juma okutuuka awaka, ng’omukyala maama Sham, ali mu kaboozi.


Maama Sham yabadde yasuubira nti bba ayinza okudda awaka mu kiseera ng’omupiira gukyasambibwa.
Oluvanyuma lwa Juma okutegeera nti mu nju mulimu omusajja, yakubye enduulu okuyita abatuuze wabula maama Sham yasobodde okuyamba omusiguze okudduka nga bba ayinza okumuttira mu nnyumba.
Wakati mu kuswala, omusiguze yasobodde okweyambisa omulyango gw’emanju w’ennyumba okudduka kyokka yasobodde okwerabira jjaketi mu nnyumba.
Ng’omuntu omulala yenna, Juma yakubye mukyala we empi wabula yataasiddwa abatuuze.
Ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, Juma yagobye mukyala we nti aludde ng’afuna amawulire nti alina omusajja omulala.


Wadde balina abaana babiri (2), Juma agamba nti akooye obwenzi bwa mukyala we.
Maama Sham yavudde awaka n’omu ku bakyala agambibwa nti mukwano gwe kuba bba yabadde avudde mu mbeera nga tayinza kudda mu nnyumba.
Wadde Arsenal yakubiddwa nga n’essuubi ly’okuwangula ekikopo lyaweddewo, Juma ate ye ali mu mbeera mbi kuba n’omukyala kati talina.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=w5H1tjg5UIs