Mu kiseera nga Poliisi eri mu kunoonyereza, ku kyavuddeko okutta bulooga Ibrahim Tusubira abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxess oba Jajja Ichuli, ebipya byongedde okuzuuka.
Jajja Ichuli yakubiddwa amasasi ekiro ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 9:20 e Kyanja mu Kampala okumpi n’amakaage.
Yabadde mu mmotoka ekika Drone namba UBK 213 D era n’okutuusa kati, abantu bakyebuuza lwaki yattiddwa.
Oluvanyuma lw’okuttibwa, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, yafulumiza sitetimenti okusaba abantu okusigala nga bakakamu, okuwa omukisa ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza okuzuula omutemu n’ensonga lwaki yattiddwa.
Ddereeva abotodde ebyama!
Mathias Waswa abadde ddereeva wa Ichuli okumala ebbanga.
Mu kiseera kino akyali mu kutya olw’okutta mukamaawe.
Mukwano gwa Waswa, ategerekeseeko erya Kato agamba nti Jajja Ichuli yakubye omulanga nti, “Allahu Akbar”, oluvanyuma lw’omutemu okumukuba essasi erisooka.
Wadde abadde musajja wa bigambo, omutemu yamukubye amasasi agawerako era bambi Jajja Ichuli yafiiriddewo.
Entekateeka ziraga nti Jajja Ichuli ayinza okuziikibwa akawungeezi ka leero ku kyalo Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Mukono.

Isma Olaxess wumula mirembe

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU