Wakati mu kunoonya abatemu, abenyigidde mu kutta Ibrahim Tusubira abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxess oba Jajja Ichuli, abantu basatu (3) bali mu kaduukulu ka Poliisi.

Olaxess yattiddwa ekiro ky’olunnaku Olwomukaaga nga 6, May, 2023 okumpi n’amakaage e Kyanja mu Kampala era yakubiddwa amasasi agaamutiddewo.

Isma Olaxess

Ku Ssande nga 7, May, 2023, Olaxess  yaziikiddwa namungi w’omuntu ku kyalo Katwe e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe omuli abayimbi, bannabyabufuzi, bannakatemba, bannabyanjigiriza n’abantu abalala.

Fred Enanga

Wabula, okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okunoonyereza kulaga nti abatemu abatta Olaxess baali babiri (2) nga baasobola okweyambisa emmundu ekika Pisito.

Enanga, agamba nti abatemu, basobola okutambula okuva mu kifo, era kiteeberezebwa nti okudduka, baasobola okweyambisa Pikipiki.

Mu kunoonyereza, Poliisi ekutte abantu 3 okuli ne Ddereeva wa Olaxess, Wasswa Mathius okuyambako mu kunoonyereza kwabwe.

Mungeri y’emu, Poliisi egamba nti bagenda kweyambisa kkamera okwekeneenya entambula za Olaxess okuva e Munyonyo gye yali ava okusamba akapiira okutuusa mu kifo webamuttira.

Okunoonyereza kulimu ebitongole bya Poliisi n’amaggye eby’enjawulo.

Mungeri y’emu Enanga agamba nti nga Poliisi, baliko essimu gye bali mu kwekeneenya emu kw’ezo, ezakubirwa Olaxess ekiro ku lunnaku lwattibwa.

Enanga agamba nti essimu, yasaba Olaxess okupakinga ebbali okumulinda, bwe yali yakasimbula okuva mu bbaala nya Nyakaana e Mutungo gye yalya ekyeggulo, ekyasembayo nga tebanamutta.

Wadde yalinda omuntu amukubidde essimu okumala eddakika eziwerako, yaddamu okuba ku ssimu ng’omusajja takwata.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d_YHpnqSRUU