Poliisi kati erina abantu musanvu (7) ku by’okutta Eng. Daniel Bbosa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 25, February, 2024.
Eng. Bbosa yattiddwa mu kiseera ng’akola nga omutaka Lwomwa, omukulu w’ekika ky’Endiga.
Omubuze Lwomwa Daniel Bbosa yaterekeddwa ku butaka bwa bajjajabe e Mbale mu Mawokota, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 3 March, 2024.
Okuva wiiki ewedde, abakulembeze mu Buganda, balemeddeko okusaba Poliisi okunoonyereza lwaki yattiddwa n’okuzuula abatemu bonna abaali mu ttemu eryo.


Okusinzira ku Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Poliisi erina abantu 7 omuli ne Lujja Noah ali mu ddwaaliro.
Enanga agamba nti wiiki ewedde, Poliisi yakwata Milly Naluwenda owa kkooti ya Kisekwa.
Abalala 5 (amannya gasirikiddwa), Poliisi egamba nti ekyanoonyereza okufuna obujjulizi bwonna obuyinza okubayamba nga batuuse mu kkooti era mu kiseera kino fayiro zaabwe zasindikiddwa eri omuwaabi wa Gavumenti.

Omugenzi Eng. Bossa ne mukyala we


Okunoonyereza kulaga nti abakwate bali mu lukwe lw’okupaanga engeri y’okutta Eng. Bbosa, okupangisa abatemu ssaako n’emmundu.
Kinnajjukirwa nti omu ku batemu Serunkuuma Enock yattibwa nga yakubwa abatuuze oluvanyuma lw’okutta Eng. Bbosa ate Lujja wadde yakubwa nnyo, akyali mu ddwaaliro e Mulago, afuna bujanjabi.
Enanga agamba nti mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, waliyo abasirikale 4 abakuuma Lujja, okumutangira okudduka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks&t=2s