Poliisi y’e Nansana eri mu kunoonya omuwala Ampire Prossy ku misango gy’okutta bba ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, bwe yabadde yakadda okulaba omupiira, Arsenal mwe yawangulidde Sheffield United ggoolo 6-0.

Lugemwa David myaka 33, kati omugenzi, abadde mutuuze ku kyalo Nansana zzooni 7 mu Monicipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Laba ekyabadde mu nnyumba

Omuwala Prossy, abadde akola mulimu gwa ‘Waiter’ mu kitundu ekyo.

Okunoonyereza kulaga nti omugenzi Lugemwa yali mutuuze e Nakuwadde wabula yali yasengukayo okudda e Nansana ku Yesu Amara olw’okufuna obutakaanya ne mukyala we Prossy.

Wiiki 2 eziyise, omukyala yasalawo okunoonya bba, era okutuuka e Nansana, nga Lugemwa, yafuna dda omukyala omulala.

Abatuuze bagamba nti Prossy ne bba, baludde nga balina obutakaanya era kiraga nti omukyala, abadde yapaanga dda okutta bba.

Mu kiro, bba bwe yakomyewo, yamufumise kiso mu lubuto era amangu ddala yagadde oluggi, okudduka okuleka bba ng’aboyaana okutuusa lwe yafudde.

Nga batwala omulambo gwa Lugemwa

Abatuuze webatuukidde okumenya oluggi, okumuddusa mu kalwaliro aka Diva medical clinic, ng’embeera mbi era yafiiriddewo.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonya omutemu Prossy, kutandikiddewo.

Poliisi mu kwekebejje ennyumba, kizuuliddwa nti omukyala Prossy yabadde aguze obwambe busatu (3) wabula yasobodde okweyambisaako kamu era mwasangiddwamu ebiwandiiko ebiraga nti yamaze kwekebeza era nazuula nti talina lubuto, kwe kusalawo okutta omusajja.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks&t=2s