KCCA erabudde ku kirwadde ky’amaaso

Ekitongole ki KCCA kirabudde ku massomero gakyo, ku kirwadde kya maaso, ekimanyiddwa nga Red Eyes, ekimyusa amaaso, ekivaako n’abantu abamu okulukusa amaziga.

KCCA, egamba nti baafunye okuteegezebwa okuva mu Minisitule y’ebyobulamu nti ekirwadde kyamaze dda okutuuka mu Kampala.

Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono Charles Bonnie amyuka Direkita w’ebyenjigiriza n’obuwereza mu kitongole ki KCCA, wakati mu kulwanyisa ekirwadde, buli ssomero

– Abayizi balina okunaaba mu ngalo ne Ssabuuni

– Balina okutegeezebwa okwewala okwata maaso

– Okwewala okwata mu ngalo z’abantu

– Okwekeneenya abagenyi abayingira massomero

– N’okutegeeza ekitongole singa bazuula omwana yenna nga mulwadde.

KCCA, esuubizza nti bakola kyonna ekisoboka okulwanyisa obulwadde, obutasasaana.

Ekiwandiiko

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ryo-lRCFvI0