Wuuno mbega wa Pulezidenti Museveni mu NUP

Omubaka wa Kimaanya-Kabonera Dr Abed Bwanika, abotodde ebyama nti David Lewis Rubongoya mbega mu kibiina ki National Unity Platform (NUP).
Rubongoya ye Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP era bali wamu ne Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).
Wabula Bwanika agamba nti akooye okusirikira ebyama n’ejjoogo ly’abakulembeze mu NUP.

Dr. Bwanika

Bwanika agamba nti kiswaza abakulembeze mu NUP okwagala okusuula Mathius Mpuuga mbu yalya ssente ate ng’akoze nnyo okuzimba ekibiina kyabwe.
Agamba nti abakulembeze mu NUP bangi bakolera Pulezidenti Yoweri Museveni kuba abantu abavaayo okuzimba ekibiina ate bagezaako okubalwanyisa.

Eddoboozi lya Bwanika


Bwanika abotodde ekyama nti NUP eri ku mulamwa okusanyawo abakulembeze mu Buganda wabula ng’omukulembeze balina okukirwanyisa.
Anokoddeyo Rubongoya okuba mbega wa Pulezidenti Museveni mu NUP.

Bobi Wine ne Dr. Bwanika

Agamba Museveni yatwala Rubongoya ku ssomero era oluvanyuma yamusindika mu NUP okubega ekibiina.
Wabula Rubongoya naye atabukidde Bwanika era agamba nti ebigambo byabwe tebiyinza kubagya ku mulamwa wabula kyannaku nnyo nti omusajja omukulu, omusumba ate avaayo okutambuza ebigambo eby’obulimba.

David Lewis Rubongoya

Rubongoya agamba nti abantu nga Bwanika okuvaayo okutambuza obulimba kiswaza naye obudde bugenda kutuuka abantu okutegeera ekituufu.

Eddoboozi lya Rubongoya

Nga Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP, Rubongoya agamba nti abakulembeze bonna abavudde ku mulamwa, tewali kubattira ku liiso.
Obutakaanya mu NUP bweyongedde oluvanyuma lw’ekibiina okuvaayo okulaga nti Mpuuga yaweebwa obukadde 500 okuva mu Palamenti ng’akasiimo olw’ebbanga nga yakulira abakulembeze ku ludda oluvuganya mu Palamenti.

Bobi Wine ne Mathius Mpuuga

NUP eraga nti ssente obukadde 500 zaali za nguzi nga y’emu ku nsonga lwaki yagobeddwa ku bwa Kamiisona bwa Palamenti ne baleeta omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis Zaake.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GJT3UWb1e-8