Poliisi y’e Kireka mu Kampala etandise okunoonyereza ku mwana eyawaayiriza abavubuka 2 okumusobyako mu 2012 ng’alina emyaka 7 egyobukulu.

Kino kiddiridde omwana, okudukira eri ab’oluganda lwe,  nti kitaawe amuzaalira ddala, yeyamukozesa era n’amuwaliriza okuwayiriza abantu abalala nga singa takikola yali agenda kumutta.

Omuwala agamba nti kitaawe Ssengo Muhammad myaka 43 abadde yetegese kuddamu okumusobyako omulundi ogw’okubiri sabiti ewedde, kwekusalawo okwogera ekyama kya 2012.

Abavubuka, abawayirizibwa nti basobya ku mwana mu 2012 basindikibwa mu kkomera e Luzira ku musango gw’okujjula ebitanajja.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti Poliisi ezzeemu okunoonyereza ku nsonga eyo, okuzuula amazima amatuufu.

Owoyesigyire agamba nti balina okweyambisa taata w’omwana Ssengo okufuna amawulire agayinza okubayambako okufuna amazima.