Omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, ayugumiza kirabu Amnesia mu kiro ekikeseza olwaleero mu Kampala.

Bobi Wine awerekeddwako abayimbi abalala okuva mu kibiina kye ekya Firebase omuli Nubian Li n’abalala era bonna basobodde okuyimba ennyimba eziwadde abadigize essannyu.

Kirabu Amnesia ebadde ekubyeko, byanabiwala biraze emibiri era bisomozeza nnyo abasajja.

Bobi Wine asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo kyoka oluyimba “Kyarenga” lukyamudde nnyo abadigize ne bakiriza nti Bobi musajja alina “Work”.