Omubaka we Bugiri mu Palamenti Asuman Basalirwa alangiridde nti 2021 abavubuka abato bebagenda okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga.

Basalirwa era ye munnamateeka w’omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agambye nti ye ssaawa okusindikiriza abantu bonna abali mu nsiko ne Pulezidenti Museveni.

Bw’abadde eyogerako eri abawagizi b’omubaka we Mityana Francis Zaake Butebi enkya ya leero, Basalirwa agambye nti ” Bobi Wine ali mu ggwanga erya Kenya okwogerako eri Palamenti n’abantu abenjawulo abawagira People Power, okusobola okwetekerateekera 2021″, ekiwadde abantu essannyu.

Mungeri y’emu alabudde abantu okusigala ku mulamwa kuba kigenda kubayamba nnyo okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lino.