Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine akulukuse ebigambo mu ggwanga erya Kenya bw’abadde ayogerako eri akakiiko  akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga erya Kenya aka Kenya Human Rights Commission ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero.

Bobi Wine asobodde okweyambisa omukisa ogwo, okusiima akakiiko okulemberamu kampeyini okusaba Gavumenti ya Uganda okumuggya mu kkomera mu kiseera ng’ateekeddwa mu kaduukulu mu bitundu bya Arua ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.

Mungeri y’emu agambye nti akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Kenya, kakola nnyo okusindikiriza Gavumenti okumugyako emisango gy’okusangibwa n’emmundu gye bali bamutaddeko.

Bobi Wine eyakuyimbira “Kyalenga” agambye nti ye ssaawa ne bannansi mu ggwanga erya Kenya okuvaayo okuyambako Uganda okuleeta enkyukakyuka bannansi gye bayayanira.

Wadde mu Africa mulimu amawanga agenjawulo, Bobi Wine agambye nti demokulasiya alina okusanikira Africa yonna okusobola okutereera n’okwesimisa ensi endala.

Bobi Wine era agambye nti Uganda ne Kenya tewali njawulo nnyo kyoka Kenya erina emirembe okusinga Uganda era y’emu ku nsonga lwaki abantu bangi nnyo bagyegomba.

Mu nsi yonna Bobi amanyikiddwa ng’omuyimbi era olw’essannyu, yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Freedom n’endala.