Omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine abikudde ekyama nti Gavumenti yekulembeddemu okulemesa entekateeka z’ekivvulu ky’oluyimba “Kyarenga”, ekibadde kirindiriddwa bangi ku bannansi mu kisaawe e Namboole nga 20, October, 2018, sabiti eno ku Lwomukaaga.

Bobi Wine agamba nti Poliisi okwebuzabuza okuvira ddala ku mukama wabwe Martin Okoth Ochola okusalawo ku kivvulu kye, kabonero akalaga nti Gavumenti, emulemesa.

Mungeri y’emu agambye nti wadde sabiti eno, kibuusibwabuusibwa, ekivvulu kya Kyarenga essaawa yonna kirina okubaayo mu kisaawe e Namboole era bwe kiba kyetagisa bagenda kukyusa ennaku z’omwezi.