Kyaddaki omuyimbi Pia Pounds abikudde ekyama ku bintu byagoberera eri omusajja yenna gw’ayinza okuteeka mu bulamu bwe.

Wadde bangi ku bannayuganda bagamba nti Pia Pounds ali mu mukwano n’omuyimbi Eddy Kenzo era y’emu ku nsonga lwaki yamusembeza mu kibiina kye ekya Big Talent, ayogedde amazima ku musajja yenna gw’ayinza okwagala.

Pia Pounds ne Eddy Kenzo
Pia Pounds ne Eddy Kenzo

Bwe yabadde ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu Big Bang ategekebwa ku laadiyo buli Lwakutaano olusembayo mu mwezi, Pia Pounds agambye nti ye, ayagala nnyo omusajja omuwanvu ate ng’alina ku ssente, omumpi, obwavu temutawaana.

Abakyala bangi bagala nnyo abasajja abalina ebintu ebyo, ebinokoddwayo ate byona Eddy Kenzo abirina, ekiraga nti Pia Pounds asobola bulungi nnyo okusembeza Kenzo mu bulamu bwe wadde Kenzo alina omukyala Rema Namakula.

Rema, Eddy Kenzo ne Pia Pounds
Rema, Eddy Kenzo ne Pia Pounds

Pia Pounds eyakuyimbira Tubawe, Wawangula n’endala agamba nti toyinza kumunenya singa omusajja alina ebintu byayagala amutukirira ng’ayagala omukwano kuba buli mukyala ayagala obulamu obulungi byeyegomba.