Poliisi y’e Jinja eri mu kusamba nsiko buli wamu okunoonya omuvubuka ow’emyaka 16 agambibwa okufumitta munne ekiso emirundu esatu okutuusa lwe yafudde.

Kigambibwa nti attiddwa abadde atawulura abavubuka abalala babiri ababadde balwanira omuwala.

Ashiraf Kisubi ow’emyaka 21 nga mutuuze ku kyalo Mafubira C yeyafumitiddwa ebiso bisatu mu kifuba.
Kisubi yafudde yakatuusibwa ku ddwaaliro e Jinja.

Adduumira poliisi mu bitundu bye Kiira Vincent Irama akakasizza kino era ategeezaza nga bwe baliko abavubuka abakwattiddwa wabula nga eyafumisa Kisubi kenyini tanakwatibwa.

Abatuuze bagamba nti bbula ly’emirimu, okunywa ebiragalaragala omuli enjaga basindikiriza abavubuka bangi nnyo okwenyigira mu kumenya amateeka mu kitundu kyabwe.