Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti amanyikiddwa nga Bobi Wine atabukidde mu Palamenti ku nsonga z’okusengula abatuuze b’omu Lusanja mu October wa 2018.

Bobi Wine agamba nti kyewunyisa omulamuzi wa kkooti e Nabweru Rebecca Ester Nasambu okufulumya ekiragiro kya kkooti ekisengula abamu ku batuuze ku kyalo Mpererwe, Sekanyonyi kyokka ne basengula ab’omu Lusanja.
Mungeri y’emu agambye nti abatuuze b’omu Lusanja betaaga amazima n’obwenkanya ku mbeera gye balimu kuba ennyumba zabwe zonna zamenyebwa mu bukyamu.

Bobi agamba nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, omulamuzi Catherine Bamugemereire n’omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Solomon Muyita okuvaayo okutegeeza nti abantu bamenyebwa mu bukyamu, kabonero akalaga nti Gavumenti erina okuvaayo okuyamba abatuuze b’omu Lusanja.

Agamba nti abaana bangi bafudde nga kivudde ku mbeera gye balimu, obulwadde bweyongedde nga kivudde ku mbeera y’obudde, abamu ku baana abawala basobezeddwako kyokka tewali kikoleddwa okuyambibwa.

Bobi Wine era agambye nti Gavumenti eteekeddwa okuddamu okuzimbira abatuuze b’omu Lusanja amayumba gabwe kuba tewali nsonga yonna lwaki ennyumba zabwe zamenyebwa.

Museveni e Lusanja mu October
Museveni e Lusanja mu October

Mu lungereza agambye nti ”
This was my submission on the floor of Parliament yesterday, regarding the illegal, illegitimate and high-handed eviction of the people of Lusanja which lies in Kyadondo East Constituency and Kawempe North. Only yesterday, the judiciary came out and apologized, while informing the nation that the court order which was relied on to evict over 350 families, leaving them homeless, was meant for land in Sekanyonyi Zone in Mpererwe and not in Lusanja! If this is not the worst form of inefficiency, impunity, corruption, maladministration and a symptom of a failing state, I don’t know what it is! This is just an example of illegal evictions and land grabbing that take place everyday in all parts of this country, and that is the system we struggle to put an end to! Today, we shall move Parliament to pass a concrete resolution to punish the perpetrators of this crime, demand compensation for the victims, and demand that as our people try to rebuild themselves with our support, they will not be interfered with by state agencies. We want justice, and we want it now“.