• 291
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    291
    Shares

Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga alindiridde Ssaabaminisita Dr.Ruhakana Rugunda okunyonyola palamenti olunnaku olwaleero lwaki poliisi ekyagaanye omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okukola ebivvulu bye.

Rebecca Kadaga
Rebecca Kadaga

Olunnaku olw’eggulo Bobi Wine yekubidde enduulu eri sipiika wa Palamenti Kadaga nga poliisi okuviira ddala omwaka oguwedde, bwezze emutataganya awatali kumuwa nsonga nambulukufu.
Bobi Wine agamba nti Poliisi emulemeseza okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’okugenda okusaba kyokka Poliisi eremeddwa okumuwa ensonga.

Gen Elly Tumwine
Gen Elly Tumwine

Ku nsonga eyo, Minisita W’obyokwerinda, Gen Elly Tumwine ategezeza nga Bobi Wine bwalemeddwa okwawula eby’okuyimba n’ebyobufuzi.
Embeera eyo, ewaliriza Kadaga okulagira Dr.Rugunda olunnaku olwaleero okutegeeza Palamenti lwaki Poliisi esukkiridde okutyoboola eddembe ly’obuntu.


  • 291
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    291
    Shares