Kyaddaki Nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa asonyiye omuyimbi Jose Chameleone.

Kinnajjukirwa nti mu konsati ya Chameleone eya Saba Saba e Lugogo Cricket Ovol, Nankabirwa yanyigira Chameleone olw’okumuswaza mu namungi w’omuntu.

Konsati yategekebwa Ssabavulu Balaamu Barugahare era yayita Nankabirwa ng’omugenyi omukulu okwogerako eri abawagizi ba Chameleone.

Ku siteegi, Nankabirwa yayogera nnyo okwebaza abantu okuwagira NRM, ekyanyiza Chameleone namugyako akazindalo.

Embeera eyo, yavirako Balaamu okunyiga n’okuggya Chameleone ku lukalala lw’abayimbi abagenda okuyimba ku bivvulu by’ategese mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

Wabula Balaamu agambye nti Nankabirwa yasonyiye Chameleone kuba alinga mwana we.

Balaamu era agambye nti asazeewo okubonereza Chameleone ng’alina okuyimba okuva ku ssaawa 6 paka ku makya ku Sheraton Hotel mu Kampala nga bannayuganda bayingira omwaka omuggya ogwa 2019.