Abaagalana Flavia Tumusiime ne Andrew Kabuura nga bonna bakozi ku NTV, bagattiddwa mu kkanisa ya All Saints Church, e Nakasero mu Kampala ku mukolo ogwakulembeddwamu Bishop eyawumula Dr David Zac Niringiye.
Olwavudde mu mugattibwa, baasembeza abagenyi baabwe ku Serena Hotel mu Kampala ku mukolo okwabadde abantu bangi ddala.

Ku mukolo, Tumusiime yategezeza abazadde nti Kabuura yasooka kubeera mukwano gwe kyokka oluvanyuma namusaba omukwano kuba bombi baali bakwatagana nnyo.

Yasabye abantu okutandiika okumuyita mukyala Kabuura, ekyawadde abazadde essannyu.