Kyaddaki Sheila Gashumba ayogedde amazima lwaki yavudde ku NTV THE BEAT, oluvanyuma lw’abantu okusasaanya amawulire nti yagobeddwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018.

Sheila Gashumba agamba nti akyali mukozi wa NTV kyokka alina Pulojekiti gy’alina mu kiseera kino era alina okugiwa obudde, okusobola okugitambuza n’okufuna bakasitoma.

Agamba nti Pulojekiti empya, y’emu ku nsonga lwaki yasuddewo pulogulamu ya NTV THE BEAT kuba ayinza obutafuna budde okuwereza abantu.

Sheila agamba nti akozze ku ttivi okuva ng’akyali muto, pulogulamu ezenjawulo era bannayuganda balina okusiima abantu abamu okusinga okukola ebyo, ebibanafuya.