Omuyimbi Eddy Kenzo alangiridde okufulumya vidiyo y’oluyimba ‘Body Language’ essaawa yonna.

Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okuteekayo akatundu ka vidiyo era nasuubiza nti essaawa yonna, vidiyo yonna agenda kugifulumya.

Mu kiseera kino, Kenzo akyatabala ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuyimbira abantu mu kujjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba era y’emu ku nsonga lwaki tanafuna budde, okukwata vidiyo yonna.

Mu Uganda, Kenzo y’omu ku bayimbi abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba ate yakyasinze okuwangula “Award” eziri ku mutindo gw’ensi yonna mu East omuli ne BET.

Wadde abamu ku bannayuganda, tabamatira nnyimba ze, ayongedde okukuba ennyimba okuddamu okuvuganya mu nsi yonna n’okuddamu okuwangula ‘Award’ ezenjawulo.