Omuntu omulala agattiddwa ku by’okutta eyali adduumira Poliisi y’e Buyende ASP Muhammad Kirumira ku misango gy’obutemu.

Kinnajjukirwa nti fayiro y’omusango gwa Abubaker Kalungi eyasooka okukwatibwa ku by’okutta Kirumira, yayitibwa Ssaabawaabi wa Gavumenti okugyekeneenya era okunoonyereza kulaze ng’omusajja omulala Hamuza Mwebe naye agattiddwa ku benyigira mu kutta Kirumira.

Abubaker Kalungi
Abubaker Kalungi

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Ssaabawaabi wa Gavumenti Irene Nakimbugwe, obujjulizi bulaga nti Kalungi, Mwebe ne bannaabwe abakyaliira ku nsiko nga, 8, september, 2018 baakuba amasasi, agaviirako Kirumira okufa ne mukwano gwe Resty Nalinnya Mbabazi e Bulenga ku luguudo lwa Kampala  – Mityana.

Mwebe ekiseera kyonna, bamutwala mu kkooti esokerwako e Wakiso mu maaso g’omulamuzi Noah Ssajabbi ku misango gy’obutemu.

Mwebe ne Kalungi bebakakwatibwa ku misango gy’okutta Kirumira kyokka okunoonyereza kukyagenda mu maaso.