Agava mu kibuga Dubai galaga nti Eddy Kenzo tali mu mbeera nungi kuba kati akirizza nti Rema Namakula omusajja amaliridde okumutwala mu butongole.
Olunnaku olwaleero, nga 14, November, 2019, Rema agenda kwanjula bba Dr. Hamza Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.


Wabula olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Kenzo yavudde mu ggwanga okwolekera ekibuga Dubai kuba alina ekivvulu olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano.

Amawulire agava mu kibuga Dubai, abamu ku mikwano gya Kenzo abagaanye okwatukiriza amannya gaabwe bagambye nti ekkiro ku ssaawa nga 4, Kenzo yafunye embeera ya Rema era yaggyeyo essimu okumukubirako abeeko by’annyonnyola wambuka ekyembi essimu teyabaddeko.

Mungeri y’emu bagambye nti Kenzo yagaanye okwebaka kuba bambi alina ebirowoozo bya Rema kuba yali takikiriza nti Rema asobola okugenda.