Poliisi y’e Jinja atandiise okunoonyereza ku ngeri Pasita munnansi wa Canada Edwin Rainer gye yabiddwa obukadde 25 ng’ali mu kisenge kya Mansion Hotero e Jinja

Rainer akedde ku kitebe kya Poliisi e Jinja, okuyambibwa ku ssente ze ezabiddwa, mu kiro ky’olunnaku olwa Ssande.

Agamba nti okuva ku Ssande, Manejja wa Hotero yali yamusuubiza okweyambisa Kkamera okunoonya ssente ezabiddwa nga kiteeberezebwa abakozi aba Hotero, bebazitwala.

Mungeri y’emu agambye nti ssente zaali zakuweebwa amakkanisa mu bitundu bya Busoga, okuyambako mu kutambuza emirimu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Diana Nandawula, Poliisi esobodde okwekebejja Kkamera za Hotero, era ziraga omu ku bakozi ng’alina ebintu by’ajja mu kisenge kya Pasita Rainer, ebiteeberezebwa okubeera ssente.

Mungeri y’emu agambye nti omukozi alabikira mu katambi yadduse ku Hotero mu kiseera kino aliira ku nsiko era Poliisi etandiise okunoonyereza n’okuyiga omukozi agambibwa okutwala ssente zonna obukadde 25.