Kkooti mu bitundu bye Lamu mu ggwanga erya Kenya, eriko ssemaka gw’ekalize emyaka 10 lwa kusobya ku mwana muto.

Ssemaka myaka 46 yasindikiddwa mu kkomera ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 8 gyokka egy’obukulu.

Mu kkooti, oludda oluwaabi lugamba nti ssemaka aludde ng’alimbalimba omwana n’obulabo omuli okumuwa ssente ssaako ‘chocolate’ era Poliisi okumukwata, yasangiddwa mu offisi ng’omwana amugyemu engoye zonna, amutadde mu ntebe amusobyako.

Omulamuzi Lamu Allan abadde musango, agambye nti kkooti efunye obujjulizi obumala era ssemaka kwe kumusiba emyaka 10.

Omulamuzi mu ngeri y’emu alabudde abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe.