Munna NRM omugundiivu James Waluswaka akikirira abantu b’e Bunyole West mu Palamenti, atabukidde ekitongole ekya Poliisi, okulemesa ekibiina kye (NRM) okuwangula mu kiseera ky’okulonda mu bitundu bya Kampala n’emirirwano.

Waluswaka agamba nti ebikolwa bya Poliisi, y’emu ku nsonga lwaki bannakampala banyiivu nnyo era bangi bakooye obukulembeze bwa NRM.

James Waluswaka
James Waluswaka

Mu kwogerako eri bannamawulire ku Palamenti enkya ya leero, Waluswaka anokoddeyo ekya Poliisi okulemesa Bobi Wine okuyimba ate Bebe Cool nakirizibwa ng’ayambadde laangi z’ekibiina kya NRM eza kyenvu, kyongedde okunyiiza Bannakampala.

Agamba nti Bobi Wine mukwano gwe nnyo era balina okumukiriza okuyimba kuba gwe mulimu gwe ogumanyiddwa kyokka eky’okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga alina okukyesonyiwa kuba Yoweri Kaguta Museveni akyaliwo nnyo.