Abasawo bawuniinkiridde mu ddwaaliro Lubaga mu Kampala omukyala bw’azadde abaana mukaaga (6) omulundi gumu.

Abaana abazaaliddwa kuliko abalenzi bana (4) n’abawala babiri (2).
Okusinzira ku nnyabwe Hawula Katende myaka 25, abadde asuubira abaana babiri kuba abadde alina olubuto kyokka yewunyizza nnyo abasawo okumutegeeza nti azadde abaana 6.

Omukyala yazadde bulungi nnyo kyokka abaana bonna tewali aweza kiro emu (1kg).

Hawula asabye abantu okumuddukirira okusobola okufuna ssente ezirabirira abaana.