Poliisi ezudde abantu 9 abagambibwa okutigomya bannayuganda mu kubba bodaboda n’okutta bannanyini zo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga beefudde abasabaze.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwate bagiddwa mu bitundu bya Kampala n’ebitundu ebiriranyewo.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Enanga agamba nti ku bantu 9, omu (1) yakwattiddwa era ali ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okubba n’okutta abantu kyokka 8 bakyanoonyezebwa poliisi.

Poliisi egamba nti abantu abanoonyezebwa kiteeberezebwa nti balina akakwate ku ttemu eryakolebwa e Kasubi mu Divizino y’e Rubaga, abasajja babiri (2) webatwala bodaboda y’omusajja oluvanyuma lw’okumutta.

Enanga agamba nti Poliisi yakazuula bodaboda 45 ezibiddwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, 5 baziwadde bannanyini zo.