Omuyimbi wa Kadongo kamu Sir. Mathias Walukaga alaze nti munyivu nnyo olwa Rema Namakula obutamuyita ku mukolo gwe ogw’okwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.

Walukaga asobodde okweyambisa oluyimba lwe olwa “Omwaka Gwa 2019” okuleeta bwiino yenna lwaki munyivu olwa Rema obutamuyita.
Mu alipoota y’omwaka 2019, Walukaga ayogedde ku bintu eby’enjawulo omuli Rema okwanjula bba Hamzah, obutakaanya obwaliwo wakati wa Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata, Catherine Kusasira okufuna obwa Minisita bwa mabugo oluvanyuma lwa Yasin Kawuma eyali ddereeva wa Bobi Wine okuttibwa n’ensonga endala.

Wadde Walukaga ayogedde ku nsonga ez’enjawulo kyokka ensonga ya Rema obutamuyita ku mukolo gw’okwanjula, alaze nti kyamuluma nnyo era mu luyimba agambye nti, “Nali nsobola n’okutambuza ebigere era omukolo nengutukako, ku mukolo sayitibwako ekintu ekyo kyanuma“.

Waliwo ebyali byogerwa nti Rema ne Walukaga baali baagalana kyokka Rema oluvanyuma yageenda ne Kenzo, Hamzah gye yamubye.