Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atabukidde abasuubuzi abayongedde okulinyisa ebintu mu kiseera kino, nga bannansi bali mu kwetangira ‘CoronaVirus’ nga n’abamu tebakyakola.

Pulezidenti Museveni bw’abadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero, ng’asinzidde makaage e Nakasero, agambye nti abasuubuzi abanaakwatibwako nga balinyisizza bbeeyi y’ebintu omuli emmere, tewali kubattira ku liiso bagenda kubagyako layisinsi zaabwe.

Museveni agambye nti mu kiseera eky’obuzibu, abasuubuzi balina okukomya okukyeyambisa okunyigiriza bannansi nga balinyisa ebbeeyi y’ebintu.

Asuubiza okweyambisa bannakibiina kya NRM okuleeta emmere mu Kampala singa abasuubuzi tebeddako mu kiseera kino n’okweyambisa bambega okuzuula abasuubuzi abalinyisizza ebbeeyi.

Mungeri y’emu agumizza bannayuganda ku bbeeyi y’amazzi mu ggwanga.

Museveni agambye nti Kabinenti egenda kutuula olunnaku olw’enkya, okusalawo ku bbeeyi y’amazzi mu kiseera kino nga bannansi bonna bagetaaga okunaaba mu ngalo, okwetangira okulwala.