Mu ggwanga erya Tanzania, 45 battiddwa lwa mukwano gwa Magufuli, 47 bataawa embeera mbi

Kyaddaki Poliisi mu ggwanga erya Tanzania efulumizza alipoota ku bantu abattibwa wakati mu kungubagira eyali omukulembeze w’eggwanga lyabwe John Pombe Magufuli.

Mu lipoota efulumiziddwa, abantu 45 bebattibwa, 47 bali malwaliro nga bali mu mbeera mbi nga kyava kanyigo mu kisaawe kye Dar es Salaam nga bannansi bayingira munda, okuba eriiso evanyuma ku Magufuli.

Poliisi eriko akatambi kefulumiza, akalaga abantu abayingira mu kisaawe nga beyambisa amakkubo amakyamu, ekyavaako abantu okwenyiga n’okubalinnya ssaako n’okuttibwa.

Ku battibwa, kuliko omusajja eyafiiriddwa omukyala, abaana babiri (2) omukozi w’awaka ne n’aba famire 2.

Wadde Magufuli, yafa nga 17, omwezi guno Ogwokusatu, amawulire gabadde agalaga nti abantu bangi battibwa, Poliisi ebadde ekyagaanye okufulumya omuwendo omutuufu, okutuusa bannansi, we bakangudde ku ddobozi, okubanja omuwendo gw’abantu abaafa.

Nga tukyali mu ggwanga erya Tanzania, abadde akulira ebizinga Deusdedit Kakoko akwattiddwa ku misango gy’okubulankanya ssente z’eggwanga 3.6bn eze Tanzania.

Amawulire galaga nti Pulezidenti we Tanzania omuggya Samia Suluhu yasomye alipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti nga waliwo ssente ezitalabika era amangu ddala yalagidde akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okutandikirawo okunoonyereza.

Kakoko yawumuziddwa ku mulimu nga 28, March, 2021.

Mungeri y’emu Palamenti mu ggwanga erya Tanzania akawungeezi ka leero ekakasiza Minisita w’ebyensimbi Philip Isdor Mpango okumyuka Pulezidenti Samia Suluhu Hassan.

Pulezidenti Suluhu akedde kulangirira Minisita Mpango era amangu ddala ne sipiika wa Palamenti Job Ndugai ayanjudde erinnya lye mu Palamenti ne likakasibwa.

Dr Mpango agenda okudda mu bigere bya Suluhu, eyakutte entebe ng’omukulembeze w’eggwanga eryo okudda mu bigere bya Magufuli eyafa nga 17, March, 2021.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku Palamenti oluvanyuma lw’okulangirira erinnya lye, Dr Mpango agambye nti musanyufu nnyo era mwetegefu okuwereza mu kifo ekimuwereddwa.

Dr Mpango y’omu ku Baminisita ababiri (2) abaddamu okulondebwa omugenzi Pulezidenti Magufuli bwe yali azzeemu okulondebwa ng’omukulembeze w’eggwanga ekisanja ekyokubiri mweyafiiridde.

Nga tannalondebwa nga Minisita w’ebyensimbi, yali muwabuzi wa Pulezidenti Jakaya Kikwete ku byenfuna.

Mu Tanzania battiddwa naye tubasabire

Okufuna amawulire amalala https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/277440690618599