Katamba abadde mu bitundu bye Fatick mu ggwanga erya Senegal, omuvubuka ali mu gy’obukulu 30 bwakatiddwa ng’ali mu kaboozi ne muk’omusajja mu Loogi.
Omuvubuka ategerekeseeko erya Ateenyu, yasangiddwa ngali mu kaboozi n’omukazi ali mu myaka 28.
Kigambibwa emikolo gibadde gitambudde bulungi kyokka Ateenyu okwagala okutuusa omukyala ku ntikko, akutuse enkizi n’awoloma, ‘maama nze’, ekisombodde abantu omuli n’abakozi ku loogi.

Omuvubuka asangiddwa ng’avudde ku kitanda asaba buyambi okumutwala mu ddwaaliro nga n’omukyala asobeddwa eka ne mu kibira.
Omukyala abadde munyivu nnyo olwa kabiite we okulemwa okumutuusa ku ntikko ate ng’emikolo abadde agitandise bulungi ddala.

Wadde omusajja atwaliddwa mu ddwaaliro wakati mu kusakaanya okuva mu batuuze, omusajja nannyini mukyala, abadde munyivu nnyo era wakati mu kulukusa ku maziga, alabudde mukyala we obutadda waka.

Ssemaka agamba nti akoze buli kimu okuwa mukyala we essanyu kyokka kimubuseeko okumukwatira mu bwenzi.

Pulezidenti Buhari

Ate mu ggwanga erya Nigeria, Pulezidenti w’eggwanga Muhammadu Buhari agumizza bannansi nga Gavumenti bweyongedde okwetekateeka okulwanyisa abatujju.
Mu Nigeria, abatujju n’okusingira ddala ab’akabinja ka Boko Haram, begumbulidde okutwalira amateeka mu ngalo omuli okuwamba n’okutta abantu.
Abayizi ku massomero bawambiddwa emirimu egy’enjawulo, ekiviriddeko bannansi, okusaba enkyukakyuka mu bukulembeze nga bagamba nti Gavumenti ya Buhari kirabika eremeddwa.

Wabula Buhari alagidde ebitongole ebikuuma ddembe byona okuvaayo okwegatta mu kulwanyisa abatujju.
Buhari agamba nti abatujju, tebalina mukisa ku mulundi guno okweyongera okulumbagana bannansi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1245535655861506