Gavumenti erabudde bannabyabufuzi ababijweteka nga gavumenti bwerina ky’emanyi ku butemu bw’ebijambiya (kitta bantu) obugenda mu maaso mu disitulikiti ey’e Masaka.

Okusinziira ku minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi gavumenti tegenda kukkiriza munnabyabufuzi yena kusaasaanya mawulire gano ag’obulimba agagenderedwamu okutabangula eggwanga n’akakasa bannayuganda nti gavumenti obutemu egenda kubulinya kunfeete mu bbanga tono nnyo.

Dr. Baryomunsi

Minisita Baryomunsi agamba nti kati ye ssaawa bannayuganda okwegatta mu kulwanyisa ekitta bantu ekiri e Masaka okusinga Bannabyabufuzi okweyambisa akaseera kano okusiiga Gavumenti enziro.

Ate ye akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba asabye gavumenti okujja eby’obufuzi mu nsonga z’ettemu ly’ebijambiya ezisuza abantu mu bbendobendo ly’e Masaka nga bakukunadde.

Mpuuga okwogera bino abadde akulembeddemu ababaka ba Buganda okulambula abantu e Buddu abakoseddwa ettemu ly’ebijambiya kyokka kibabuseeko nga ku babaka ba National Resistance Movement (NRM) abakiikirira ebitundu bino tewali n’omu agenzeeyo.

Hon Mpuuga

Mpuugu mu ngeri y’emu agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe mu ggwanga biweebwa ssente mpitirivu okukuuma abantu n’ebintu byabwe nga kiswaza okutta abantu 26 e Masaka mu bbanga lya myezi 2 (Ogwomusanvu n’Ogwomunaana).

Asabye abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye okwongera amaanyi mu kukuuma abantu n’ebintu byabwe okusinga okulinda abatuuze okuttibwa.

Agamba abantu okuttibwa mu ssaawa za Kafyu kiswaza era kabonero akayinza okulaga nti Poliisi n’amaggye galemeddwa.

Waliwo abayitiddwa!

Ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku misango mu ggwanga ekya CID kiyise bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) era abakiise ba Palamenti omuli Alan Ssewanyana owe Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North ku kitta bantu ekigenda mu maaso e Masaka.

Mp Ssegirinya ne Ssewanyana

Okusinzira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Kaminsona Paul Kato Tumuhimbise ku lwa Grace Akullo, akulira ekitongole kya Bambega, Ssegirinya ne Ssewanyana, balina okweyanjula ku Poliisi okugibwako Sitetimenti ku kitta bantu ekiri e Masaka.

Ssegirinya ne Ssewanyana balindiriddwa okweyanjula mu offiisi ya ‘Detective’ Moses Taremwa ku kitebe kya Poliisi e Masaka olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 6 omwezi guno Ogwomwenda, 2021 ku ssaawa 4 ez’okumakya.

Okusinzira ku mwogezi wa CID Charles Twine, tewali kubusabuusa kwonna Ssegirinya ne Ssewanyana bayitiddwa ku kitta bantu ekiri e Masaka.

Mungeri y’emu asambaze ebyogerwa nti, ekitta bantu ekiri e Masaka bakiyingizaamu ebyobufuzi.

Ebirala ebiri mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/532809787792908