Famire ya Pasita David Muwanguzi, ewanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okuyimbula bba oba okumutwala mu kkooti, okutegeera emisango lwaki yakwattibwa.

Pasita Muwanguzi, nannyini kutandikawo ekkanisa ya Holy Spirit Home, okusinzira ku Famire, yakwattibwa nga 22, omwezi oguwedde Ogwomwenda, 2021 e Kasanga ne bamutwala ku Poliisi y’e Nateete.

Omukwate Muwanguzi

Mukyala wa Pasita Muwanguzi, Patricia Muwanguzi agamba nti bba, yatwalibwa abasajja abaali mu ngoye eza buligyo nga bakutte emmundu.

Omukyala agamba nti Pasita Muwanguzi, yakwatibwa n’omutabani Abraham Katerega ali mu gy’obukulu 16 era bukya akwattibwa, sabiiti zigenda mu 2 nga bali ku Poliisi.

Mukyala wa Muwanguzi ne munnamateeka Namyalo

Pasita Muwanguzi nga mutuuze mu disitulikiti y’e Wakiso, mukyala we asemberedde okuzaala era wakati mu kulukusa amaziga, asabye okuyimbula bba, ng’aliko ensonga z’amaka, zalina okutuukiriza.

Bw’abuuziddwa engeri gye yakwatibwamu, agambye nti bba, waliwo eyamukubira essimu nga yeefudde emu ku ndiga ze, eyetaaga okusabirwa, kyokka bwe yageenda ng’ali n’omutabani ne bamukwata nga bukya bamutwala embeera, eyongedde okwonooneka.

Eddoboozi ly’omukyala Patricia

Ate munnamateeka wa Pasita Muwanguzi, Jessica Namyalo, agamba nti emisango egivunaanibwa omuntu we, tegimanyiddwa mu kiseera ng’ebitongole ebikuuma ddembe byongedde okubuzabuza.

Mungeri y’emu agamba nti okutyoboola eddembe kweyongedde mu bitongole ebikuuma ddembe, nga kimenya amateeka okusiba omuntu, sabiiti ezigenda mu 2 nga tewali kumutwala mu kkooti.

Ku nsonga ezo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire agamba nti Pasita Muwanguzi yakwatibwa ku misango gy’okutta abantu.

Poliisi egamba nti Muwanguzi waliwo, abamulumiriza okubapangisa okutta abantu mu bitundu bye Jinja.

Oweyesigyire bw’abadde awayamu naffe ku lukomo lw’essimu, agumizza Famire okusigala nga bakakamu kuba essaawa yonna, bagenda kumutwala mu kkooti.

Ate Gavumenti esabye abayizi abalina obuzibu mu by’enfuna okuteekamu okusaba kwabwe bawebwe looni munkola  eyatandikibwawo gavumenti  ey’okuwola abayizi  ku mutendera gw’amatendekkero aga waggulu  bamalirize emisomo.

Mu mwaka gw’ebyensoma guno 2021/22 gavumenti eteeteese okuyambako abayizi 1,600 mu matendekero agalina layisinsi.

Kigambibwa abayizi bangi bayinza obutadda ku massomero olwa bazadde abakoseddwa mu byenfuna wakati mu kulwanyisa Covid-19 wabula Gavumenti egamba nti evuddeyo okuyamba abayizi okufuna looni ez’okusoma.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ADZPpD4MOJE