Poliisi y’e Busoga East etandiise okunoonyereza ku ngeri asikaali okuva mu kitongole ki Blue Light Security company gy’attiddwa era akubiddwa amasasi mu kiro ekikeeseza olwaleero ku Ssande.

Poliisi egamba nti Asuman Mutegula akubiddwa amasasi abantu abatamanyiddwa.

Mutegula abadde yasindikiddwa okukuuma sitoowa y’ebirime ku kyalo Kasokoso cell mu ggoombolola y’e Central division mu Monicipaali y’e Iganga, abatemu kwe kumutta, ne batwala n’emmundu ye.

Omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Iganga okwekebejjebwa.

Omu ku beerabiddeko n’agaabwe agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti abatemu badduse nga bali ku Pikipiki nga tekuli nnamba okudda mu disitulikiti y’e Mayuge.

Diana Nandawula, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East agamba nti Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya abatemu n’okuzuula emmundu.

Mungeri y’emu Poliisi ekutte abagambibwa okuba ababbi ne Manejja wa Hotero ku misango gy’okuzuula emmundu mu Maisons Bwindi Hotel mu Monicipaali y’e Kabale.

Hotero ya Bernard Turyasingura, omu ku basuubuzi abagundivu mu bitundu bye Kabale.

Abakwate kuliko Manejja wa Hotero Boaz Byonanebye, Isaac Akandwanaho myaka 25 omutuuze ku kyalo Kamabare mu ggoombolola y’e Bitereko mu disitulikiti y’e Mitooma ne Ephraim Matsiko.

Nga 1, September, 2022, Brenda Birungi omu ku bakozi ku Mobile Money ku kyalo Bushambya mu ggoombolola y’e Upper Bugongi ward mu Monicipaali y’e Kabale, yaloopa omusango ku kitebe kya Poliisi e Kabale olwa babbi okubba ssente ze 530,000 ku muddumu gw’emmundu.

Oluvanyuma lwa Birungi okuloopa omusango, Poliisi mu kulondoola essimu, yakizudde nti yabadde ku luguudo lwa  Keita, ekifo ekirimu Maisons Bwindi Hotel.

Poliisi mu kwekebejja Hotero, yazudde emmundu ekika kya PSO namba UG PSO 4000741 10983 n’amasasi 3, ebyambe 2, engoye n’ebiwandiiko nga biri mu mannya ga Isaac Akandwanaho.

Amangu ddala Poliisi yakutte Byonanebye okuyambako mu kunoonyereza n’okuzuula bannanyini bintu.

Akandwanoho yakwattiddwa mu kiro bwe yabadde akomyewo okwebaka.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti Matsiko naye yakwattiddwa bwe yabadde akomyewo mu kiro.

Okunoonyereza kulaga nti Matsiko ne Akandwanaho baludde nga benyigira mu kubba mu bitundu bye Mbarara ne Kabale.

Maate agamba nti abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Kabale era omusango guli ku fayiro namba CRB 624/2022.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q