Alipoota eyakava mu kunoonyereza kwa Poliisi eraga nti omugagga Charles Olim amanyikiddwa nga Sipapa y’omu ku babbi bakkondo, abaludde nga batigomya abantu mu Kampala.

Okunoonyereza kulaga nti okuva 2014 Sipapa y’omu ku babbi, abaludde nga benyigira mu kumenya amayumba ne banyaga ebintu omuli ssente enkalu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, wadde Sipapa yakwatibwa ku misango gy’okubba omugagga, munnansi wa South Sudan Jacob Arok, omwezi oguwedde Ogwomunaana, e Kawuku, Bunga mu bitundu bye Makindye, aludde nga yenyigira mu kubba abantu mu Kampala.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero, agamba nti wadde Sipapa, yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okubba, balina okumugyako sitetimenti ku bantu bazze ng’abba mu bitundu bye Bugoloobi, Kabalagala, Kiwatule, Ntinda Kira Road, Jinja Road, Kyanja Jomayi n’ebitundu ebirala.

Enanga agamba nti ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kyasobodde okweyambisa Fingerprint za Sipapa okuzuula nti ddala y’omu ku babbi, abalina akakwate ku bubbi bw’abantu 12 okuva mu 2014.

Enanga ku Sipapa

Wiiki ewedde ku Lwokutaano, Sipapa yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 19, omwezi guno Ogwomwenda, 2022 ku misango mukaaga (6).

Okunoonyereza kulaga nti Sipapa y’omu ku bakkondo, abenyigira mu kumenya ennyumba omugagga Arok, mu kiro kya 28 – 29, omwezi oguwedde Ogwomunaana ne batwala ebintu eby’enjawulo.

Poliisi egamba nti Sipapa ne banne batwala ebintu omuli ssente Biriyoni emu n’obukadde 600 n’okusoba, amassimu ga iPhone 4, kompyuta za Laptop ekika kya Apple 2,  ebikomo bya zzaabu eby’enjawulo nga bya mukyala, ttiivi ya Flat Screen ekika kya Sumsung n’ebintu ebirala.

Poliisi egamba nti baasobola okweyambisa Kalifoomu, okumenya okutwala ebintu ebyo.

Wabula mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Makindye Patience Tukundane, Sipapa ne mukyala we Nakiyimba Shamirah, baguddwako emisango gy’okubbisa eryannyi nga beyambisa ebiragala omuli Kalifoomu.

Munnamateeka we Abed Nassar Mundyobole agamba nti empalana n’eby’obufuzi y’emu ku nsonga lwaki Sipapa yakwatiddwa naye si musajja mubbi. Agamba bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga basaba kkooti abantu baabwe okweyimirirwa.

Mungeri y’emu agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe birina okunoonyereza lwaki omugagga Arok yali ateeka ssente mu nnyumba ezisukka mu biriyoni wansi w’ekitanda.

Poliisi egamba nti yazuula ddoola 70,000, amassimu ga Iphone 4, laptop 3, ebikomo bya zzaabu, ennamba z’emmotoka ez’enjawulo n’ebintu ebirala mu maka ga Sipapa ku kyalo Buwate mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ng’akabonero akalaga nti ddala y’omu ku babbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=r-TGtSmv_hk