Teodoro Obiang Nguema Mbasogo myaka 80, azzeemu okuwangula obwa Pulezidenti bw’eggwanga erya Equatorial Guinea.

Okusinzira ku bivudde mu kulonda, Nguema afunye ebitundu 95% era ayingidde mu byafaayo nga Pulezidenti w’ensi ekyasinze okulwa mu buyinza.

Teodoro Nguema Obiang Mangue, mutabani wa Pulezidenti nga mu kiseera kino yamyuka kitaawe ku bwa Pulezidenti, agambye nti okuwangula, kiraga nti bakyalina amaanyi n’okwagalwa kwa bannansi.

Wadde okulonda kubaddemu abakulembeze okuva ku ludda oluvuganya, bagamba nti babadde tebalina ssuubi lyonna okuwangula obwa Pulezidenti.

Azzeemu okuwangula obwa Pulezidenti

Pulezidenti Obiang yateeka abantu be n’okusingira ddala aba famire mu bifo ebyenkizo mu bitundu awali amafuta, ekibafudde abagagga abavundu.

Yawamba obuyinza n’amagye mu 1979 era ebbanga ly’amaze mu buyinza emyaka 43, asimatuse okuwambibwa emirundi egy’enjawulo.

Wadde Pulezidenti Teodoro Obiang Nguema Mbasogo yawangudde ekisanja eky’omukaaga, bangi ku bannansi bagamba nti bbanga ly’amaze mu buyinza, abantu bangi battiddwa, okutyoboola eddembe ly’obuntu era bangi bagamba nti abadde yeenyigira mu kubba akalulu.

Mu September, 2022, Gavumenti yaggyawo eky’okuwanika abantu ku kalaba.

Teodoro Nguema Mbasogo yakamala mu buyinza emyaka 43.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=0tpxeuVDCwg