Abantu battiddwa…

Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo, byongedde okunyweze ebyokwerinda mu bitundu bye Beni, mambuka g’essaza Kivu, okutangira abatujju okudda mu kitundu kyabwe.

Abatujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF), baalumbye ekyalo ne batta abatuuze abasukka 20 ng’abamu basangiddwa mu bbaala, oluvanyuma ne banyaga abadduuka ag’enjawulo ssaako n’ogateekera omuliro.

Mu kiseera kino, abasirikale beyongedde obungi mu bitundu bye Beni okubatangira abatujju okudda mu kitundu kyabwe.

Abantu battiddwa mu ggwanga lya Congo

Abatuuze bali mu kutya ng’abamu basobodde okudduka ku kyalo olw’okutya nti essaawa yonna abatujju bayinza okudda.

Abantu bangi nnyo battiddwa mu ggwanga lya Congo wabula mu kiseera kino DR. Congo ne Gavumenti ya Uganda bali wamu mu kulwanyisa abatujju ba ADF.

Ate Poliisi mu bitundu bye Meru mu ggwanga erya Kenya, etandiise okunoonyereza okuzuula amazima ku kyavuddeko omusajja myaka 41 okwetta.

David Mbijiwe yeetugidde emanju w’ennyumba oluvanyuma lwa mukyala we omukulu okumugoba awaka ku Ssande ekiro.

Bwe yabadde yetta, yasobodde okuwandiika akabaluwa era yagambye nti tasobola kusigala mu nsi nga tali na mukyala we.

Baneyiba bagamba nti omusajja kati omugenzi Mbijiwe n’omukyala baludde nga balina obutakaanya olw’omusajja okufuna omukyala omulala.

Poliisi esuubiza okunoonyereza okutuusa nga bazudde ekituufu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=s9ymanqUArM