Minisita atabukidde abasomesa ba ‘sciences’

Kyaddaki ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ki UNEB kifulumiza ebigezo bya S6 eby’abayizi abatuula omwaka oguwedde ogwa 2023.

Abayizi 110,553 bebatuula ebigezo okuva mu ‘Centres’ 2,102 okuva ku 97,890 abatuula mu 2022.

Ku mulundi guno, abayizi abawala abatuula baali 47,226 (42.7%) ate abalenzi 63,339 (57.3%).

Wadde 110,553 bewandiisa okutuula, abakola ebigezo baali 109,488 nga kuliko abawala 46,860 ate abalenzi 62,628.

Omwaka 2023, abayizi 1,065 (0.9) tebatuula bigezo byabwe ate omwaka 2022, baali 1,333 (1.4).

Ku mulundi guno, Luzira yatuuza abayizi 34 nga kuliko abalenzi 30 n’abawala 4 era bonna batuula era baasobodde okufuna obubonero obwetaagisa okufuna ebbaluwa.

Mu bigezo ebifulumiriziddwa

Abayizi

52,452 bafunye 3P

28,191 bafunye 2P

18,624 bafunye 1P

9,225 bafunye 1S (Subsidiary passes)

996 bagudde n’enkona n’enywa.

Abayizi 90.7%, bagenda kufuna ebbaluwa, ezibakkiriza okweyongerayo okusoma ku matendekero agaawaggulu ng’omwaka 2022, baali ebitundu 89.3%.

UNEB egamba nti abayizi 80,643  (73.7%) basobodde okufuna 2P ezetaagisa omuyizi yenna okugenda ku Yunivasite okusinga omwaka 2022, abaafuna 2P baali 67,815 (70.3%).

Ku mulundi guno, wadde abayizi abalenzi babadde bangi okusinga ku baana abawala, abawala bakoze bulungi nnyo okusinga ku baana abalenzi.

Abafunye 3P and 2P, abawala bangi okusinga ku balenzi kyokka abalenzi bangi bagudde okusinga abawala.

Abayizi abafunye wakati wa (A – E), bakoze bulungi nnyo mu Entrepreneurship Education, Christian Religious Education, Geography, Literature in English, Agriculture, Chemistry, Biology ne Art.

Abayizi abakola Mathematics ne ‘Sciences‘ beyongeddeko obungi n’okusingira ddala Mathematics.

Abayizi bajjumbidde okukola Mathematics (45,414), Chemistry (21,779),  Biology (19,934) ne Physics (17,106).

UNEB egamba nti abayizi bakyakola bubi essomo lya Biology n’okusingira ddala ‘Practical”.

UNEB era agamba nti amasomero galina okukola ennyo okutumbula omutindo mu bya tekinologye (ICT) kuba amasomero mangi tegalina bikozesebwa.

Okubba ebigezo, kukendedde mu bigezo bya S6, okusinzira ku UNEB.

Mu kufulumya ebigezo, Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu John Chrysestom Muyingo, alaze nti simusanyufu n’engeri abasomesa ba ‘Science‘ engeri gye bakolamu emirimu gyabwe.

Muyingo agamba nti wadde Gavumenti ekoze mulimu gwaayo omuli okubongeza emisaala, okubawa ebitabo n’ebyetaagisa mu kusomesa, ebiva mu UNEB engeri abayizi gye bayita, waliwo akabuuza era balina okunoonyereza kati obuzibu buva wa, ani atakola mulimum gwe kuba abayizi kati balina okufuna ennyo A mu bigezo byabwe.

Minisita w’ebyenjigiriza era kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino, Janet Kataaha Museveni, awanjagidde abayizi abagudde 996 obutagwamu mannyi wabula basobola bulungi okuddamu okusoma.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lzocnYcOSQ0