Pasita Senyonga awuninkiriza abantu

Kyaddaki Pasita Jackson Senyonga owa Christian Life Church, Bwaise awuninkiriza abantu mu kkanisa, abotodde ebyama ebikyamudde abantu.

Pasita Senyonga ne Pasita Robert Kayanja owa Lubaga Miracle Centre Cathedral, baludde nga balina obutakaanya nga buli omu agamba nti alina bwiino ku munne.

Bwiino, buli omu alumirizza munne okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.

Bangi ku bannayuganda, baludde nga balowooza nti Pasita Senyonga ayinza okuba alina obuzibu ku Pasita Kayanja ng’omuntu.

Wabula Pasita Senyonga agamba nti talina buzibu na muntu yenna mu nsi.

Agamba nti ng’omukulembeze, alina okwenyigira mu kulongoosa omulimu gwa Katonda mu kkanisa nga balina okulaga eggwanga obuzibu obuli mu kkanisa.

Pasita Senyonga agamba nti mu kiseera eky’okulwanyisa ekibi ekiri mu bakulembeze b’eddini, kigenda kwongera okunyweza ekkanisa.

Alemeddeko nti okulwanyisa ekibi, kigenda kwongera okunyweza ekigambo kya Katonda mu Uganda.

Musajja wa Katonda Senyonga agamba nti wadde omuntu alina ekkanisa, alina okutegeera nti eddini erina okuweebwa ekitiibwa era singa omuntu yenna akola ensobi, balina okumukangavula.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ah0JCtiTnV0