Poliisi ekutte maama ali myaka 30 ku misango gy’okutta muwala we, myaka 3 omulambo nagweziikira.

Entiisa eno, ebadde ku kyalo Muzira 1 mu ggoombolola y’e Kakanju mu disitulikiti y’e Bushenyi.

Okunoonyereza kulaga nti maama yakutte omwana ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, namunyoola ensingo namutta oluvanyuma alina emikwano gye, egyasobodde okumuyambako, okusima ekinnya mu lusuku, namuziika.

Oluvanyuma lw’okutta omwana, omukyala yaddukidde mu ddwaaliro lya Kijumo Health Center 11 nakubira bba essimu, okumutegeeza nti mulwadde nnyo, era yamusabye okusindika ssente ez’okugyamu akaweta, akabadde kamulemesa okufuna olubuto.

Okusinzira ku Marcial Tumusiime, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, omusajja yasobodde okusindika ssente shs 5000, kyokka okutuuka awaka, ng’omwana we, tamulaba.

Marcial Tumusiime

Omusajja yavudde mu mbeera okutambula omukyala era amangu ddala omukyala yakulembeddemu bba n’abatuuze okubatwala mu kifo mu lusuku omwana waziikiddwa oluvanyuma lw’okumutta.

Mu kiseera kino, omulambo gw’omwana gusindikiddwa mu ddwaaliro lya Kampala International Teaching Hospital okwekebejjebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ryo-lRCFvI0