Omuyimbi Zuhura Othman Soud amanyikiddwa nga Zuchu myaka 30 kabiite wa Diamond Platnumz awereddwa okuyimba mu Zanzibar okumala ebbanga lya myezi 6.

Kigambibwa bwe yabadde mu bitundu bye Kendwa omwezi oguwedde ogwa Febwali, 2024, bwe yabadde ku siteegi, yasobodde okukozesa ebigambo by’obuseegu, amazina ssaako n’ebikolwa.

Okusinzira kakiiko akatwala abayimbi mu bitundu bye Zanzibar, Zuchu yamenye amateeka g’omu kitundu, obuwangwa n’ennono.

Mungeri y’emu alagiddwa okusasula $390 (£306) (ssente 1,482,000) kuba yasobodde okuyimba nga tannaba kwewandiisa mu kakiiko akalondoola abayimbi mu kitundu ekyo.

Wabula Zuchu asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwetonda. Agamba ekigendererwa kyabadde kusanyusa bantu wabula si kuwabya muntu yenna.

Kigambibwa mu Africa, Zanzibar eri mu bifo 10 ebisooka, ebisiinga okusikiriza abalambuzi.

Mu East Africa, Zuchu ye mukyala eyasoose okuweza abagoberezi akakadde kamu (1,000,000) ku mukutu ogwa YouTube.

Zuchu era ye mukyala eyasoose mu East Africa ate mu Africa ali mu kyakutaano (5) okuweza abalabi abasukka mu bukadde 500 ku YouTube.

Ezimu ku nnyimba ezifudde omuyimbi ow’enjawulo mwe muli Zawadi, Sukari, Chapati, Honey, Kwikwi, Cheche, Nani n’endala.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=PSli80YVqlc