Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) balambuludde lwa Mathius Mpuuga yagobeddwa.

Ku lunnaku olw’okutaano, NUP yagobye Mathius Mpuuga ku bwa kamiisona bwa Palamenti era amangu ddala balonze omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Zaaka Francis okudda mu bigere bye.

NUP egamba nti Mpuuga baamusaba alekulira obwa kamiisona nagaana ku bya ssente 1.7B eza ‘Service Awards’.

NUP egamba nti Mpuuga yalemeddwa okumatiza akakiiko akafuzi aka NEC lwaki yeenyigira mu bikolwa eby’okulya enguzi, ebikolwa ebiwebuula ekibiina kyabwe.

NEC ekaanyiza Mpuuga okugibwayo ku bwa kakiiko ka kamiisona olw’okulya enguzi, obutali bwenkanya, n’okukozesa obubbi offiisi ye mu kiseera ng’ali ku ludda oluvuganya.

Balangiridde nti essaawa yonna, bagenda kutegeeza Palamenti mu butongole nti Mpuuga yagobeddwa.

NEC ezzeemu okulonda Hon. Zaake Francis Butebi okudda mu bigere bya Mpuuga nga Kamiisona wa Palamenti.

Bagamba nti Zaake yagibwa mu offiisi y’obwa Kamiisona mu bukyamu March, 2022 ne kimulemesa okutambuza emirimu.

Okusinzira ku kiwandiiko ekyatekeddwako omukono Dr. Lina Zedriga Waru, akola nga Pulezidenti, entekateeka z’okuggya Mpuuga ku bwa Kamiisona, zitandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ryo-lRCFvI0&t=1s