Poliisi mu Kampala ekyanoonya abantu abagambibwa nti beenyigidde mu kutwala ssente z’omubaka wa Busiro East Medard Lubega Ssegona, obukadde 118.

Ssente zabiddwa mu mmotoka bwe yabadde etwaliddwa okwozebwa.

Mu kiseera kino Ssegona akola nga ssentebe w’akakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE.

Medard Lubega Ssegona

Emmotoka omwabiddwa ssente yabadde etwaliddwa okwozebwa ku ‘Washing Bay’ e Rubaga okumpi ne ku lutikko e Rubaga.

Mu kunoonyereza, Poliisi yakakwata abantu basatu (3) okuyambako mu kunoonyereza.

Abakwate kuliko Jordan Asiimwe, Emmanuel Migadde ne John Vianney Kibaale.

Okusinzira ku Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, waliwo abakozi abalala abenyigidde mu kutwala ssente, abaliira ku nsiko.

Kigambibwa Poliisi okuva e Nateete mu kwekebejja amaka g’abakwate e Wankolokolo – Kinaawa ku luguudo lwe Nakawuka mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso, yasobodde okuzuula ssente obukadde 35.

Onyango agamba nti ssente zonna obukadde 118, zabadde mu mmotoka.

Edward Lutaaya, ssentebe w’ekyalo Wankolokolo – Kinaawa, agamba nti ssente zagiddwa mu siriingi mu kazigo kaabwe.

Okunoonyereza kulaga nti abamu ku babbi baddukidde mu kyalo mu bitundu bye Mpigi oluvanyuma lw’okutwala ssente.

Wadde Poliisi eri mu kunoonyereza, omubaka Ssegona bwe yabadde ayogerako n’olupapula lwa New Vision, yasabye ensonga za ssente obutagenda mu mawulire, “I do not want that story in the Newspaper. Do that for me“.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=PSli80YVqlc