Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asobodde okweyambisa obuyinza bwe mu sseemateeka, okukola enkyukakyuka mu magye.

Museveni alonze mutabani we Gen. Muhoozi Kainerugaba okudda mu bigere bya Gen Wilson Mbasu Mbadi ng’omudduumizi w’amagye.

Gen. Mbadi mu nkyukakyuka mu kabinenti y’eggwanga, alondeddwa nga minisita omubeezi  ow’ebyobusuubuzi n’ebibiina by’obwegassi.

Mu nkyukakyuka endala mu kitongole ky’amaggye mwe muli

Abadde amyuka omuduumizi w’amaggye Lt Gen Peter Elwelu, alondeddwa ng’omuwabuzi wa Pulezidenti

Lt Gen Samuel Okiding, abadde adduumira amaggye e Somalia mukago gwa African Union, alondeddwa okudda mu bigere bya Lt Gen Elwelu, okumyuka Gen. Muhoozi ng’omudduumizi w’amaggye.

Big Gen David Mugisha, omuduumizi wa SFC akuziddwa n’atuuka ku ddaala lya Maj General.

Maj Gen Leopold Eric Kyanda abadde akulira eby’emirimu mu maggye, alondeddwa okukiikira Uganda mu nsi endala (temanyiddwa mu kiseera kino).

Maj Gen Jackson Bakasumba abadde akulira eby’emirimu mu maggye g’oku ttaka kati alondeddwa okulira eby’emirimu mu maggye gonna, okudda mu bigere bya Maj Gen Kyanda.

Ate Col Asaph Nyakyikuru, omudduumizi w’eggye lya Bakomando mu SFC naye akuziddwa n’atuuka ku ddaala lya Brigadier General.

Olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Museveni yalonze Oboth Markson Jacob nga Minisita w’ebyokwerinda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=52vq3qNW8UE