Mu kiseera kino mutabani wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Gen Muhoozi Kainerugaba ali mu kintu, mu kiro ekikeeseza olwaleero alondeddwa ng’omuduumizi w’amaggye mu ggwanga lino Uganda.

Gen Muhoozi ne Pulezidenti Museveni

Biki ebikwata ku Gen. Muhoozi?

Gen Muhoozi myaka 49, yazaalibwa nga 23 April 1974.

Mu buto yasooka kusomera mu ggwanga lya Tanzania, Mount Kenya Academy e Nyeri ne Sweden.

Kyokka kitaawe Yoweri Kaguta Museveni bwe yawamba mu 1986 yakomawo kuno (Uganda) n’atandika okusomera ku Kampala Parents School, King College Budo ne St Mary’s College Kisubi.

Yeegatta ku ggye lya UPDF mu 1999 n’atendekebwa mu by’amagye mu ttendekero lya Royal Military Academy Sandhurst erya Bungereza.

Yajja akuzibwa mu madaala okutuusa lwe yafuulibwa Colonel mu September wa 2011.

Mu August wa 2012 yafuulibwa Brigadier era n’afuulibwa omuduumizi w’aggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC).

Mu 2013 ne 2014, Muhoozi y’omu ku baduumizi ba UPDF abaasindikibwa e South Sudan.

Mu 2017, baamulonda okubeera omuwi w’amagezi owa Pulezidenti Museveni avunaanyizibwa ku bikwekweeto eby’enkizo.

Mu February wa 2019, yakuzibwa n’afuuka Lt. General.

Mu June wa 2021, Muhoozi yafuulibwa omuduumizi w’eggye lya UPDF ery’oku ttaka ng’adda mu kifo kya Lt. Gen Peter Elwelu eyali afuuliddwa omumyuka w’omuduumizi w’aggye lya UPDF.

Yaduumira amaggye g’oku ttaka okuva 24, June, 2021 okutuusa 4, October, 2022.

Ku myaka 49, kati yaduumira amaggye mu ggwanga Uganda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=52vq3qNW8UE