Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza ebikwata ku Kabinenti empya, nate ebiriwo biraga nti tewali kubusabuusa kwonna, 2026, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) alina okuddamu okwesimbawo.

Mu kiro, Museveni akoze enkyukakyuka mu magye.

Gen. Muhoozi

Museveni alonze mutabani we Gen. Muhoozi Kainerugaba okudda mu bigere bya Gen Wilson Mbasu Mbadi ng’omudduumizi w’amagye.

Gen. Mbadi mu nkyukakyuka mu kabinenti y’eggwanga, alondeddwa nga minisita omubeezi  ow’ebyobusuubuzi n’ebibiina by’obwegassi.

Museveni okulonda Gen. Muhoozi, asobodde okusindika sigino eri bannayuganda bonna nti mu 2026, Gen. Muhoozi tasobola kwesimbawo ku bwa Pulezidenti kuba akyali mu magye.

Gen. Muhoozi alina ekisinde ekya Patriotic League of Uganda ( UPL) era bangi ku bawagizi be babadde balowooza nti 2026, ayinza okwesimbawo ku bwa Pulezidenti, okudda mu bigere bya kitaawe Museveni.

Gen Muhoozi n’abawagizi be

Wabula kati balina okulinda kuba sigino ziraga nti mu 2026, Pulezidenti Museveni akomawo okuvuganya ku bwa Pulezidenti.

Mu bigenda mu maaso mu ggwanga okuva ku ludda oluvuganya, biraga nti mu 2026, Museveni alina emikisa mingi okuddamu okuwangula obwa Pulezidenti kuba okweyuzayuza ng’abakulembeze ku ludda oluvuganya kusukkiridde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=52vq3qNW8UE