Ebitongole ebikuuma eddembe nga bikulembeddwamu Poliisi, bikedde kunyweza byakwerinda mu bitundu bye Ntebbe okwetekeratekera okudda kw’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Bobi Wine asuubirwa okutuuka ku kisaawe Entebbe, ku ssaawa 4 ez’okumakya okuva mu ggwanga erya America, gy’abadde yaduukira okufuna obujanjabi oluvanyuma lw’okukubwa mu bitundu bya Arua.

Olunnaku olw’eggulo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, yafulumiza entekateeka yonna ey’olunnaku olwaleero era yakaatiriza nti aba famire bokka bebagenda okukirizibwa okwaniriza Bobi ku kisaawe Entebbe oluvanyuma awerekerwe Poliisi okutuuka mu makaage mu bitundu bye Magere.

Kayima bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru yakatirizza nti tewali muntu yenna agenda kukirizibwa kutataaganya byantambula ku luguudo lw’ENtebbe n’emirimu gy’abasuubuzi era tewali muntu yenna gwebasuubira kukyankalanya mirimu gya Poliisi.

Emilian Kayima
Emilian Kayima

Ku nsonga eyo, Bobi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okwanukula  Poliisi okomya okweyingiza mu nsonga ezitabakwatako.

Bobi agamba nti Poliisi, teteekeddwa kumutegeeza bantu abalina okumwaniriza.

Agamba nti olunnaku olwaleero, mikwano gye, bannabyabufuzi n’abayimbi bebagenda okumwaniriza, aba famire bagenda kusigala waka.

Okusinzira ku Bobi, bwanaava ku kisaawe Entebbe, agenda kulambula ku jjajjaawe omulwadde Najjanankumbi oluvanyuma agenda mu bitundu bye Kamwokya okulya eky’emisana ne famire ye.

Bwanaava e Kamwokya, ayolekera amakaage agasangibwa e Magere.

Agamba nti munnayuganda era alina eddembe lye okutambula mu ggwanga lyona nga tewali amulemesa era Poliisi terina buyinza kweyingiza mu nsonga ze.

Wabula Poliisi etadde emisanvu ku luguudo lw’Entebbe mu bitundu bye Kajjansi okutangira omuntu yenna ayinza okwenyigira mu ffujjo.